Amawulire

Mutabani wa Juliana aziikiddwa

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

Juliana kimuli

Keron Rapheal Kabugo olwaleero agalamiziddwa  ku biggya bya bajjajja be e Kiryagonja Matugga.

Omwana ono aziikiddwa namungi w’omuntu avudde e Bule b’ebweeya nga mwemubadde, abayimbi,bannakatemba, bannabyabufuzi, nga n’aduumira amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala Talutumiddwa mwana

Omusasi waffe Abdul Wasike atutegeezezza nti abantu b’okukyaalo nabo bajjumbidde nnyo era nga kumpi buli muyimbi abaddeyo.

Bw’abadde ayogerako eri abakungubazi, omuyimbi Juliana agambye nti kati mugumu,kubanga Katonda eyamuwa omwana ono era y’amututte.

Yayimbiddemu n’omwana we akayimba k’agamba ni kamugumizza nnyo mu kaseera kano akazibu.

Tusobodde okwogerako n’abayimbi abeetabye mu kusabira omugenzi okubadde Sophie Gombya Ragga Dee, Pastor Bugembe n’abalala.