Amawulire

Museveni yetondedde Banna-Kenya ku bigambo ebyayogeddwa Mutabani we

Museveni yetondedde Banna-Kenya ku bigambo ebyayogeddwa Mutabani we

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Pulezidenti Yoweri Museveni yetondedde Bannakenya ne Bannabuvanjuba bwa Afrika olw’enneyisa ya mutabani we, Gen Muhoozi Kaine-rugaba olwebigambo bye byatasoose kusengeka.

Mu kimu ku biwandiiko bye yafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter, Muhoozi yagambye nti ng’ali wamu n’amagye ge asobola okuwamba ekibuga ekikulu ekya Kenya Nairobi mu wiiki bbiri.

Mu kiwandiiko kyafulumizza akawungeezi ka leero, pulezidenti asabye Bannakenya okusonyiwa Uganda olwebigambo bya mutabani we nebyo byeyayogedde ku bikwata kunsonga z’okulonda mu nsi yaabwe.

Muhoozi kinajjukirwa nti yagamba nti omuk wa KENYA abadeko Uhuru Kinyatta yali yalina kuta ntebbe olwa kalulu obululu nti ye yali muyambyeko ne bwekuba kulwana nasigala muntebe.

Okusinziira ku Museveni, si kituufu abaserikale oba abantu babulijjo okweyingiza mu nsonga za mawanga amalala.

Ono ategezeza nti ayogeddeko nomukulembeze wa Kenya William Ruto namwetondera ku bigambo mutabaniwe byeyasimatuse ngomuwendule.