Amawulire

Museveni yeeyongedde obuwagizi

Ali Mivule

February 17th, 2014

No comments

museveni in kyankwanzi

Obuwagizi   bwa pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo ku bwa pulezidenti bulabika nga bukula buli lunaku

Bannakibiina kya NRM ababeera ebweru w’eggwanga bakwataganye okuwagira nti Museveni addemu okwesimbawo

Bano batudde mu kibuga London era nebavaayo n’ekiwandiiko nga kiwagira Museveni

Kino kissiddwaako omukono gw’abakulira Patrick Asiimwe nga bagamba nti teri Muntu asaanye kwesimba ku Museveni mu mwaka 2016

Bano wabula bongedde okusaba gavumenti okussaawo minisitule ekola ku nsonga zaabwe basobole okwongera okufuna mu ggwanga lyaabwe

Ababaka mu kibiina kya NRM beebasooka okuwagira Museveni nebegattibwaako n’abavubuka