Amawulire

Museveni wakwogerako eri palamenti leero

Museveni wakwogerako eri palamenti leero

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Pulezidenti Museveni olwaleero agenda kwogerako eri palamenti ku mbeera eri mu y’eggwanga.

Omukolo guno gugenda kubeera mu kisaawe k e Kololo okutandika ku ssaawa munaana ezakawungeezi.

Okwogera kwa pulezidenti kujjidde mu kiseera nga Bannayuganda babonaabona n’obuzibu mu by’enfuna ng’ebbeeyi y’ebintu ekyali waggulu.

Bannayuganda era basuubira pulezidenti okwogera ku butemu bwemmundu obukute akati mu ggwanga.

Nólunaku lw’eggulo, mu Kampala, omukuumi yakubye omuvuzi wa booda amasasi n’alumizibwa oluvannyuma lw’obutakkaanya.

Ono era asuubirwa okwogera ku mbeera y’amagye ga Uganda agali mu mawanga ag’ebweru omuli ne Somalia abajaasi 54 gye battiddwa abatujju ba Alshaabab n’abalala.

Songa nábayizi abagezesebwa mu busawo basoomoozezza pulezidenti okukola ku kulwawo okusindikibwa mu malwaliro batandike okukola.