Amawulire

Museveni wakwogerako eri eggwanga Olunaku lwaleero

Museveni wakwogerako eri eggwanga Olunaku lwaleero

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Pulezidenti Museveni akawungeezi ka leero asuubirwa okwogerako eri eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’ebirala ebikulu mu ggwanga

Okwogera kwe kugidde mu kaseera nga abayeekera ba ADF bakalumba essomero mu disitulikiti ye Kasese ne batta abantu abasoba mu 40 ng’abasinga baali bayizi, n’okuwamba abalala mukaaga.

Mu May, Uganda yafiirwa abajaasi 54 mu bulumbaganyi abatujju ba alshabab bwe baakola ku beesi ya maggye g’omukago gwa Africa mu Somalia.

Pulezidenti era yemulugunya ku buvuyo obwetobekera mu kudamu okulonda ssentebe wa disitulikiti ye Bukedea okwaliwo omwzi oguwedde nga abamu baali beesimbyewo bakubwa emiggo okwagala okubatta.

Kati ekitongole ekirwanyisa obuli bwenguzi mu maka gomuk weggwanga kakute omubaka wa gavumenti owa disitulikiti eyo, Wilberforce Tukei, n’omuduumizi wa Poliisi mu disitulikiti Charles Okoto olwokulemerwa okukola omulimu gwabwe mu kulonda kuno.

Bino n’ebirala bye bimu ku bintu omukulembeze w’eggwanga by’asuubirwa okulaga mu kwogera kwe ekiro kya leero.