Amawulire

Museveni takkuta – Besigye

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti  Dr. Kiiza Besigye alabudde bannayuganda obutasubira pulezidenti Museveni kuva mu buyinza nebwanaaba awangudde ekisanja ekyemyaka 5 ekirala.

Bw’abadde atalaaga ebitundu bya Budadiri y’obuvanjuba okunonya akalulu amakya galeero, Besigye ategezezza nga Musevei bw’azza subiza obutadda mu buli kampeyini kale nga kati lwafuuka luyimba ngoma y’ebulako.

 

Besigye agamba pulezidenti Museveni tasaana kulondebwa mu kisanja kirala nga kati asaana kwogera ku ngeri gy’agenda kutamu buyinza oluvanyuma lw’emyaka 30 nga akulembera eggwanga.

 

Besigye abadde ayanukula omuwabuzi wa pulezidenti John Nagenda ayategezezza nga pukezidenti Museveni bw’avuganya ku kisanja kye ekisemba.

 

Besigye kati ayolekedde bugwanjuba bwa Budadiri gy’agenda okukba enkungaana endala 2.