Amawulire

Museveni simussanyufu eri ekitongole ekiwooza

Museveni simussanyufu eri ekitongole ekiwooza

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga Museveni alaze obwenyamivu olwekitongole ekiwooza ekya URA okulagaya mu kusolooza omusolo mu ggwanga.

Bino abyogeredde ku kisaawe e Kololo, Eekitongole kino bwekibadde kijaguza okuweza emyaka 30 bukya kitandikawo.

Museveni agambye nti yadde nga wabadewo okweyongera okuva mu mwaka gwa 1991 wabula wakyaliwo omuwaatwa wakati wensimbi bannauganda ze balina nomusolo ogubasolozebwako.

Ono agambye nti Uganda erina obusobozi okukunganya omusolo oguyinza okukola ku byetaago byayo awatali kwewola bweru.

Museveni wano wasabidde akulira ekitongole kya URA okulongoosa ekitongole okugyamu abali benkwe na balyake bonna.