Amawulire

Museveni ayozayozeza abasiramu okutuuka ku Eid

Museveni ayozayozeza abasiramu okutuuka ku Eid

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omukulembeze weggwanga Museveni ayozayozeza abasiramu mu Uganda nensi yonna okumalako ekisiibo kyómwezi omutukuvu ogwa Ramathan.

Mu bubakabwe obwa Eid Al-Fitr, Museveni agambye nti okusiiba kintu kirungi nyo kuba kisembeza omusiibi eri omutonziwe.

Era ategezeza nti asuubira okuba nti omwezi omulamba abasiramu gwe basiibye gwakuvaamu ebibala ebyómwoyo nómubiri.