Amawulire

Museveni ayanukudde ab’oku twita ye

Museveni ayanukudde ab’oku twita ye

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga gwanga Yoweri K. Museveni agamba nti ebyobufuzi, byetoloolera ku kuteesa nokukubaganya ebirowoozo.

President Museveni okwogera bino abadde ayanukula abantu ku mutimbagano gwa yintaneti, Godfrey Begumisa bwasinzidde ku mukutu gwa Museveni ku twitter nagamba nti omubaka wa Kyadondo East Reobert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine agende mu nsiko bwaba ayagala obuyinza.

Wabula omukulembeze we gwanga agambye nti kino tekyetagisa, wabula ekrina okukolebwa abamuvuganya kwekuleeta ebirowoozi byabwe, okubigerageranya kubya NRM.

Bwabadde ayanukula omuntu omulala EriRwanda, amulumirizza okutulugunya bnanansi ba Rwanda abali mu Uganda, Museveni agambye nti ensonga eno bajitesezaako ssi ne President Kagame yekka, wabula nabakulembeze abalala mu mu Africa.

Agambye nti ensonga ezirimu amawanga tayinza kuzogererako ku social media nemu mawulire.