Amawulire

Museveni ayanukudde abamwogerera kubyókuggala amasomero

Museveni ayanukudde abamwogerera kubyókuggala amasomero

Ivan Ssenabulya

August 12th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Prossy Kisakye,

Omukulembeze w’eggwanga Museveni ayanukudde abamwogerere kukyókuggala amasomero wakati mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid-19, agambye nti ye asooka kufa kukyabulamu bwabantu.

Museveni abadde ayanukula eyaliko senkagale wekibiina kya FDC, Dr Kizza Besigye, eyavaayo jjuzi nakolokota gavt olwokusibila abaana awaka okumala ebbanga eddene.

Wabula Museveni agamba nti engeri gyekiri nti amasomero agasinga obungi abaana bava waka okugenda okusoma tasobola kumala gagulawo kuba bayinza okuleetera abazadde ekirwadde

Bino abyogeredde ku kisaawe e Kololo mu kukuza olunaku lwa bavubuka.

Ate Bamusaayimuto ba DP bakiikidde gavumenti ensingo olw’obutakola kimala okugunjula n’okukulakulanya abavubuka mu gwanga.

Mukwogerako ne bannawulire pulezidenti wa UYD Ismail Kiirya agamba nti n’ebiragiro ng’omuggalo, bikoze kinene mu kukuumira abavubuka mu bwavu.

Mungeri yemu aba UYD bambalidde government olw’obutafaayo kukulakulanya kitone ky’abavubuka.

Bano bagamba nti nabavubuka abaliko webatuuse belandiza bokka olwo Gavumenti nelyoka ebajukkira nga bamaze okwejja mu ddubi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *