Amawulire

Museveni ayagala tteeka ku mmotoka z’abakulembeze b’enono

Museveni ayagala tteeka ku mmotoka z’abakulembeze b’enono

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Benjamin Jumbe

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni agamba nti waliwo obwetaavu bw’etteeka oba enkola enarungamya enkozesa yemmotoka zabakulembeze abenono.

Pulezidenti Museveni yabadde Kololo, mu kusabira omwoyo gwomugenzi Emorimori Augustine Osuban abadde omukulembeze wenono owaba-Teso.

Eno yeyabadde omukungubazi omukulu, nga yagambye nti abakulembeze bano baweebwa emmotoka ngazibawa ngomuntu naye kyetaaga kiyisibwe mu tteeka, nga nabakulembeze abalala okugeza ba kattikiro nabawereza abalala baganyulwa.

Emorimori Mukama yamujulula nga 5 February 2022, mu ddwaliro e Mulago, agenda kuzikibwa ku lunnaku Lwomukaaga mu gandaalo lya Sabiiti lino.

Mungeri yeemu, minisitule yekikula kyabantu eraze okutya ku ndoliito ezisusse mu bakulembeze benono.

Agambye nti ebitundu ngobwa-Kyabazinga bwa Busoga nawalala balwanira ebifo, nebatuuka nemu kooti.

Betty Amongi asabye ekibiina ekigatta awamu obkulembeze buno, okuvaayo nenkola eyitwamu okugonjoolanga obutakanya obubalukawo, okwewala ebigoberera.

Ono yabadde Kololo mu kusabira Emorimor Papa Osuban, nga yamutenderezza nti abadde mukulembeze mutabaganya era abunyisa emirembe nobumu mu bantu.