Amawulire

Museveni awonye ekirwadde kya Covid

Museveni awonye ekirwadde kya Covid

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Pulezidenti Museveni alangiridde nti kati musajja wa ddembe oluvannyuma lw’ebyavudde mu kukeberebwa covid omulundi ogwókubiri okulaga nti takyalina kirwadde.

Omukulembeze w’eggwanga abadde alwanagana nékirwadde kya covid19, yadde nga ekibiina kyébyóbulamu ekyensi yonna kyategeeza nti obulwadde buno tebukyali bwabulabe.

Mu kiwandiiko kyeyafulumizza akawungeezi akayise ku mukutu gwa twitter, pulezidenti yawadde Bannayuganda amagezi okwetanira okugenda okukeberebwa nga endwadde kuba zisobola okuwona nga zirabiddwa mangu.

Ono era asabye abantu okwetanira okugenda okugemebwa endwadde zonna ezigemebwa, okwewala okunywa omwenge, sigala ne biragalaragala.

Museveni akubirizza abantu okukola dduyiro buli kiseera okusobola okuba ffiiti n’okulya emmere ennungi ennansi, okunywa kaawa n’okumira Vitamins kyóngere amaanyi abaserikale b’omubiri.

Mungeri yemu PULEZIDENTI Museveni asabye eby’okuddamu okuva mu minisitule y’ebyobulamu ne Dr Monica Musenero, minisita avunaanyizibwa ku bya ssaayansi n’obuyiiya ku nsonga lwaki eddagala lya Covidex terina kakasibwa mu mateeka okutandika okukola.

Ono ayagala okumanya lwaki kitutte ebbanga ddene ab’avunanyizibwa okukakasa oba ddala Covidex esobola okuwonya Covid19 ngómuyiiya weddagala lino bwagamba.

Eddagala lino erinnansi lyakolebwa Pulofeesa Patrick Ogwang omunoonyereza omututumufu mu ddagala ly’ebimera era nga y’akulira eby’eddagala mu yunivasite y’e Mbarara University of Science and Technology (MUST).

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority (NDA) mu mwaka gwa 2021 kyakkiriza COVIDEX, okukozesebwa ng’eddagala eriyambako mu kukakanya obubonero bwa Covid wabula ne bategeeza nti tebalikakasiza kuba nti covid19.