Amawulire

Museveni awolereza ekyókulinyisa Muhoozi eddaala mu maggye

Museveni awolereza ekyókulinyisa Muhoozi eddaala mu maggye

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

PULEZIDENTI Museveni awolerezza okulinnyisa mutabani we eddala erisinga mu maggye

Olunaku lweggulo Museveni yakuziza mutabani we Muhoozi Kainerugaba okutuuka ku ddaala llya Jeneraali okuva ku lya Lt.Gen

Okukuzibwa kwe okuva olwo kuleetedde bannayuganda bangi n’abakungu b’amaggye abaawummula okutabulwa okusinziira ku nneeyisa ye ku mukutu gwa twitter eyabadde etadde eggwanga ku kabi.

Wabula pulezidenti mu kiwandiiko kyafulumizza olwaleero agambye nti mutabani we, Gen Muhoozi aliko ebirungi bingi byakoze mu ggwanga yadde nga wabadewo ensobi

Mu kiseera kye kimu pulezidenti asiima mutabani we, Gen Muhoozi olw’okuba nomwoyo gwa Africa ogutafa.