Amawulire

Museveni atendereza aba UPDF ku kikwekweto kya Shuja

Museveni atendereza aba UPDF ku kikwekweto kya Shuja

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omuk weggwanga Museveni atendereza eggye lye ggwanga erya UPDF olwómulimu gwe bakoze mu kikwekweto kya Shuja, mwebalwanyisa abayekera ba ADF abaasimba amakanda mu buvanjuba bwa DR Congo.

Amawulire agava mu ddwaniro galaga nti mu kiseera kino abayekera bali mu kusasaanira mu lusozi lwa ne mu bibira.

Museveni nga ye muddumizi wa UPDF owokuntiko akakasiza nti eggye lye si lyakupowa okutuusa nga abayekera bano balinyibwa kunfeete.

Bino yabyogedde akyaddeko ku nkambi ya Muhoti Barracks e Fortpotal.

Asabye abakulembeze mu ggye lye okwongera okubangula abasirikale mu bukodyo obwomulembe bwe basobola okweyambisa mu buli mbeera.

Ate ye Gen. Wilson Mbadi, agamba nti ekigendererwa kyabwe ekikulu kyali kyakusanyawo nkambi ya bayekera era kino kyaguka dda nga kati abasirikale batunulidde ku mmalirawo ddala bakambwe mu bifo ebirala gye bekukumye.