Amawulire

Museveni atadde omukono ku Tteeka elikangula Abasiyazi

Museveni atadde omukono ku Tteeka elikangula Abasiyazi

Ivan Ssenabulya

May 29th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulembeze weggwanga Museveni amazze nateeka omukono ku bbago lye teeeka erikangavula abenyigidde mu buli bwebisiyaga.

Mu mwezi ogwokuna omukulembeze weggwanga yagaana okuteeka omukono gwe ku tteeka lino nalagira lidde mu palamenti liddemu okwetegerezebwa nga agamba nti obumu ku buwayiro bwali bwetaaga kukolebwamu nongosereza.

Museveni yawakanya ekyokuvunaana omuntu yenna gwebeefananyiriza okuba omusiyazi nagamba nti etteeka lirina kukola kwooyo eyenyigidde mu kikolwa oba okukiwagira.

Ebimu ku bibonerezo ebiri mu tteeka lino, asingisibwa omusango olwókwenyigira mu mukwano ogwébikukujju wakusibwanga emyaka 10 songa abanenyigira mu kulya ebisiyaga abaana abatanaba kwetuuka ne babasiiga na kawuka bakuttibbwa.

Sipiika wa palamenti Anita Among, atendereza pulezidenti olwóbuvumu bwayoleseza nateeka omukono ku tteeka lino okutaasa obuwangwa bwa Afirica ne kitiibwa kyámaka.

Mungeri yemu yebaziza ababaka ba palamenti abakolera awamu okulaba nti ebbago liyisibwa ne yebaza ne bannauganda abasaba liyite.