Amawulire

Museveni asuubirwa mu Disitulikiti yé Oyam okuwenjeza Munna NRM akalulu

Museveni asuubirwa mu Disitulikiti yé Oyam okuwenjeza Munna NRM akalulu

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Pulezidenti Museveni olwaleero asuubirwa mu disitulikiti y’e Oyam okunonyeza obuwagizi bwa munnakibiina kya NRM mu kudamu okulonda omubaka wa palamenti akagenda okubaawo ku Lwokuna lwa ssabiiti eno.

Ng’ebula olunaku lumu lwokka okulonda kubeewo ebibiina by’obufuzi ebirina abeesibyewo biri mu kaseera akasembayo okunonya okalulu.

Abantu bana bébasunsulwa okuvuganya mu kulonda kuno okujuza ekifo kya Oyam North oluvanyuma lweyali minisita w’abakozi Charles Engola, okuttibwa. Ku bano kuliko, Daniel Okello owa NUP, Newton Okello owa FDC, Dr Eunice Apio owa UPC ne Samuel Engola owa NRM asuubira okudda mu bigere bya kitaawe.

Okuvuganya okwámaanyi kuli wakati wa munna NRM ne munna UPC

Mu nkambi ya NRM, Nampala wa gavumenti, Denis Obua yeegasse ku akulira ebyokulonda mu kibiina kino Dr Tanga Odoi ne Ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong nga batambula mu byalo nga banonyeza Engola akalulu.

Ate ku ludda lwa UPC, pulezidenti w’ekibiina era omubaka wa Lira City East Jimmy Akena ne ttiimu ye nabo tebatudde banonyeza Dr Eunice Apio akalulu.