Amawulire

Museveni asomozza ab’eKyambogo ku basomesa ba sayansi

Museveni asomozza ab’eKyambogo ku basomesa ba sayansi

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni asabye abaddukanya ettendekero lye Kyambogo, okwongera okutendeka absomesa ba sayansi, okutukiriza ekigendererwa ekyatandisaawo univasite eno emyaka 17 emabega.

Pulezidenti Museveni buno bwebubaka bwawadde, okuyita ku mutimbagano ngasinzidde butereevu mu maka gobwa pulezidnti neyetaba ku mattikira ge Kyambogo agomulundi ogwe 17.

Agambye nti okuva mu mwaka gwa 1969, ettendekero lino lyasomesanga abasomesa ku mitendera egyenjawulo.

Agambye nti ettendekero lyejulula okufuuka univasite naritandika okusomesa ebyemikono namasomo amalala nayenga ekirooto mu kusooka kyali kusomesa abasomesa.

Ku mattikira gano, abasomesa ba sayansi 179 bebagenda okuttikirwa, nga Museveni agambye nti nakyo kimuwadde essanyu.

Ate amyuka ssenkulu wettendekero lye Kyambogo Prof Eli Katunguka asabye gavumenti okuwagira amatendekero ga gaayo, nga batumbula tekinologiya nobuyiiywa bwebavumbudde.

Katunguka agambye nti Kyambogo nabalala baliko bingi byebavumbudde naye tebisobodde kugenda mu maaso nga betaaga obuwagizi.

Kino agambye nti kivuddeko banakigwanyizi okutwala obuyiiya bwabwe, nebabwongerayo.

Asabye gavumenti erambike bulungi eitendera gyokufuna ssente ezobuyiiya eziri mu minisitule ya sayansi ne tekinologiya abakugu baabwe basobole okuzifuna.

Amattikira gano gagenda kukulungula ennaku 3, ngawamu abayizi 9,521 bebagenda okuttikirwa.