Amawulire

Museveni asisinkanye Kagame

Museveni asisinkanye Kagame

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, mutaka mu kibuga Nairobi mu gwanga lya Kenya, ngeno asisinkanye munne owa Rwanda Paul Kagame nabakulembeze abalala ku nsonga z’okutebenkeza egwanga DR-Congo.

Omukulembeze wegwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta, ba ssentebbe bomukago gwa East African Community yayise abakulembeze okuli Museveni, Kagame, nowa Tanzania Samia Suluhu Hassan, Évariste Ndayishimiye owa Burundi ne Felix Tshisekedi owa DR-Congo.

Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze wegwanga ku snonga zamawulire Lindah Nabusayi, Pulezidenti Museveni era agenda kwetaba mu kuteeka emikono ku ndagaano eyingiza Congo mu mukago, mu butongole.

Eno nsisinkano yabyafaayo wakati wa Museveni ne Kagame, ebadde erudde okuberawo okuva mu February wa 2020, bwebasisnkana e Katuna, ku nsalo ya Uganda ne Rwanda.

DR-Congo lyegwanga ery’omusanvu okwegatta ku mukago, nga bagiyingiza mu lutuula lwabakulembeze bamawanga olwe 19, olwatuula nga 29 March, olwasinziira ku mutimbagano.