Amawulire

Museveni asiimye bannaddiini okutumbula enkulakulana

Museveni asiimye bannaddiini okutumbula enkulakulana

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulembeze weggwanga Museveni atendereza bannaddiini okwokuva mundowooza ennafu ne ntalo ne batandika okutumbula endowooza ya gavt ya NRM eyókukyusa bannansi

Pulezidenti okwogera bino abadde mu kusaba kwe ggwanga okwomulundi ogwa 23rd mu makage e Entebbe okutambulidde wansi wómulamwa ogugamba nti okuba abóbuvunanyizibwa ewa katonda ne mu bantu.

Museveni agambye nti ababuulizi bénjiri ab’ennaku zino bamusanyusa nyo kuba bava kunjiri eyokwawula yawula nobukyayi kati bali kuyankulakulana

Mungeri yemu ye omulabirizi wa West Ankole diocese, Johnson Twinomujuni, akinoganyiza nti buvunanyizibwa bwabwe okusumulula abantu ba katonda okuva mu bwavu, obutamanya ne ndwadde okuyita mu njiri ya kristo