Amawulire

Museveni asanyukidde ekya CAF okukkiriza East Africa okutegeka empaka za AFCON

Museveni asanyukidde ekya CAF okukkiriza East Africa okutegeka empaka za AFCON

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Pulezidenti Museveni asanyukidde amawulire g’ekibiina ekitwala omuzannyo gwomupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) okuwa amawanga 3 aga East Africa okuli Kenya, Tanzania ne Uganda omukisa okutegeka empaka za AFCON eginabaawo mu 2027, n’agamba nti kabonero akalaga omwoyo gwóbwa sseruganda.

Kino kiddiridde CAF olunaku lw’eggulo okulangirira nga bwekkiriza amawanga gano asatu okwegata gategeke empaka zino.

Mu bubaka bwe bwayisiza ku mukutu gwa X eyali twitter, Pulezidenti Museveni agamba nti amawanga ga Africa gasobola okuganyulwa ennyo singa omwoyo guno ogw’obumu gugaziyiziddwa mu bitundu ebirala ngémbeera z’abantu, ebyobufuzi n’ebyenfuna.

Obuwanguzi buno abutadde ku kugatta ebikozesebwa mu mizannyo, nga ebisaawe, by’agamba nti byayongera okusikiriza ttenda ya PAMOJA.

Bwatyo Museveni atendereza aba CAF olw’okusalawo kuno, n’ayozaayoza n’okwebaza bakulembeze banne; Samia Suluhu owa Tanzania ne William Ruto owa Kenya olw’okukkiriza ekirowoozo ky’okuvuganyiza awamu.