Amawulire

Museveni asabye wabeewo okukyusa enneeyisa mu kulwanyisa siriimu

Museveni asabye wabeewo okukyusa enneeyisa mu kulwanyisa siriimu

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

PULEZIDENTI Museveni asabye wabeewo enkyukakyuka mu nneeyisa bwekiba nti okulwanyisa akawuka ka siriimu kunalaba obuwanguzi.

Bino abyogeredde ku mukolo gw’okujjukira olunaku lwa mukenenya mu nsi yonna ngemikolo emikulu wano muggwanga gibadde Rukungiri.

Museveni agamba nti okukwatibwa akawuka ka siriimu tekukyali kwa butanwa nga bwe kyali edda era bwe kityo kisobola okwewalibwa.

Okusinziira ku Museveni, engeri yokka ey’okumalawo akawuka ka siriimu kwe kukatangira obutakwata.

Alabula nti engeri gye waliwo obujjanjabi bw’obulwadde buno n’okuwangaaza obulamu bw’omuntu, tekirina kwesiguza bantu kuba kasita okafuna obanga afunye obulemu

Ono era alajaanidde abalina obulwadde buno okwetanira okumira eddagala lyabwe n’abantu baleme kubavuma nokubaboola.

pulezidenti akubiriza bannaddiini n’abakulembeze b’ebitundu okulwanirira enkyukakyuka mu nneeyisa y’abavubuka kibayambe obutafuna kawuka.