Amawulire

Museveni asabye bannabyabufuzi okuwagira entekateeka za Gavt

Museveni asabye bannabyabufuzi okuwagira entekateeka za Gavt

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga Museveni asabye bannabyabufuzi okuwagira gavt muntekateeka yaayo eyókulaba nti abayizi bonna mu ggwanga ku mutendera ogwa pulayimale ne sekendule basomera bwerere.

Bino abyogedde ayogerako eri abakungu abakunganidde ku kisaawe e Kololo mu kusoma embalirira ye ggwanga oluvanyuma lwokukitegeera nti yadde nga mu pulayimale bayingira bangi ate mu sekendule batono abamaliriza.

Ono agambye nti ku baaana obukadde 11 abayingira mu pulayimale, obukadde 2 bwokka bwebugenda mu sekendule.

Alaze obwetaavu okwongera okuwagira abaana bano basobole okumaliriza emisomo nga kino kyakuyamba nokukendeeza ku kyamasomero okukanda abazadde ensimbi.