Amawulire

Museveni asabye abasomesa okulekeeraawo okumuteeka ku Puleesa némisaala

Museveni asabye abasomesa okulekeeraawo okumuteeka ku Puleesa némisaala

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

PULEZIDENTI Museveni alabudde abasomesa okukomya okumuteeka ku puleesa olw’okubongeza emisaala.

Kino kiddiridde ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National teachers Union okusaba gavumenti erowooze ku ky’okwongeza emisaala gy’abasomesa aba-arts mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Bwabadde ayanukula okusaba kwabwe, Museveni agamba nti abasomesa balina okulekera awo okumutiisatiisa kubanga kiwugula gavumenti.

Agamba nti abasomesa bakomye okumutabula okusaasaanya eby’obugagga by’eggwanga buli wamu wabula bamukkirize okukwata ekizibu kimu kimu.

Museveni agamba nti naye yali musomesa era yasomesa ku bwereere, asabye abasomesa okugumiikiriza.