Amawulire

Museveni asabye abasawo okubunyisa amawulire kundwadde enkambwe

Museveni asabye abasawo okubunyisa amawulire kundwadde enkambwe

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

PULEZIDENTI Museveni asabye banaansi n’abazaalisa okuyambako mu kubunyisa amawulire ku bulabe obuli mu ssenyiga omukambwe ne birwadde ebirala ebikambwe nga ebola.

Obubaka bwa pulezidenti butikibbwa, omumyuka we, Jessica Alupo, mu kukuza ebikujjuko ebyokuweeza emyaka 100 bukya kakiiko omwegatira abasawo bannansi na bazaalisa aka Uganda Nurses and Midwives Council katandikawo.

Pulezidenti Museveni abalabudde ku butabeerawo, okulondoola n’okukolagana n’abafere mu mulimu guno n’okulagajjalira abalwadde.

Ono era abakubirizza okukozesa pulogulamu za gavt ezókujja abantu mu bwavu omuli Operation Wealth Creation ne Parish Development Model basobole okwekulakulanya.

Mungeri yeemu Dr.Ruth Aceng, Minisita w’ebyobulamu asabye abasawo okwolesa empisa mu mulimo gwabwe nokwewaayo okutukiriza obuweereza bwabwe.