Amawulire

Museveni alonze pulezidenti wa DP kubwa Minisita

Museveni alonze pulezidenti wa DP kubwa Minisita

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omukulembeze w’eggwanga Museveni alonze Pulezidenti wa DP Nobert Mao ku bwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka.

Okulondebwa kwe kugidde mu kaseera nga waakayita essaawa ntono pulezidenti okulangirira nti yatadde omukono ku ndagaano ey’okukolagana ne Mao mu byémirimu.

Kati amawulire ga Mao okufuuka minisita gakakasiddwa amyuka ssaabawandiisi wa pulezidenti Faruk Kirunda.

Mao azze mu bigere bya Maj Gen Kahiinda Otafiire eyakyusibwa okuva mu kifo kino omwaka oguwedde.

Okuva olwo minisitule eno ebadde mu mikono gy’a minisita avunanyizibwa ku bakozi ba gavumenti Muruli Mukasa.

Mungeri y’emu pulezidenti era alonze Hamson Obua abadde minisita ow’ebyemizannyo n’ebyenjigiriza ng’akulira enzirukanya ye mirimu gya gavumenti.

Ekifo kino kibadde kikalu okuva Thomas Tayebwa lwe yalekulira okufuuka omumyuka wa sipiika.

Obua asikiziddwa Peter Ogwang abadde minisita ow’okulondoola ebyenfuna mu ofiisi ya pulezidenti.

Ekifo kya Ogwang pulezidenti akitademu omubaka omukyala owa Akori, Beatrice Akello.