Amawulire

Museveni alonze bakamisona basatu ku kakiiko kéddembe lyóbuntu

Museveni alonze bakamisona basatu ku kakiiko kéddembe lyóbuntu

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Pulezidenti Museveni alonze abantu 3 okuweereza nga bakamisona mu kakiiko ka Uganda Human rights Commission.

Bano kuliko Simeo Nsubuga eyali omwogezi wa poliisi era eyaliko omubaka akiikirira Kassanda South, Col Stephen Basaliza ne Omara Apita.

Amannya g’abalondeddwa gaweerezeddwa mu palamenti okwekebejjebwa.

Akakiiko kabadde kalwanagana n’emisango egyali giddirira n’abakozi abatono oluvannyuma lw’okufa kwa Rev Father Simon Lokodo n’endagaano za bakaminsona babiri okuggwaako.

N’olwekyo okulondebwa okupya kujja mugaso okukola akakiiko mu bujjuvu era n’okwanguyiza okukwata emisango mu kakiiko kano