Amawulire

Museveni ali Bugiri leero

Ali Mivule

March 16th, 2015

No comments

Museveni  addresses villagers

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa mu bitundu bye Bugiri okunonyeza akalulu munna NRM Hajji Siraje Byavawala eyembyewo ku kuddamu okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti eno .

Ssabawandiisi wa NRM   Justine Lumumba Kasule agamba pulezidenti Museveni wakukuba enkungaana ez’enjawulo era wakutangaaza ku byayogerwa eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye nga alumba NRM Bweyali mu disitulikiti wiiki ewedde.

Olwokaana luno mulimu ne munna FDC  Luba Bumaali,n’abesimbyewo ku lwabwe okuli Walangalira Mwamadi, Simon Funa n’eyali omubaka wa  Bukooli north Abdu Nakendo.

Ab’eBugiri bakusuula akalulu nga  19th of March-2015 oluvanyuma lw’ekifo kino okusigala nga kikalu olw’eyali ssentebe  Marijani Azalwa okugobwa mu ofiisi kkooti bweyamusingisa ogw’okukuba n’alumya gwebaali bavuganya naye David Mulengeni  mu kampeyini za  2011.