Amawulire
Museveni aleese abajulizi 185
Bya Daily Monitor
Omugatte obujulizi bwabantu 238 bwebugenda okubeera mu musango gwakulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi mwawakanyiriza okulondebwa kwa Yoweri Museveni, ku kisanja ekyomukaaga.
Kati olwaleero Daily monitor eriko emboozi eyenjawulo gyewandiise, ekwata ku musano guno.
Kati Museveni ataddeyo okwewozaako 185 songa Kyagulanyi yaleeta obujulizi bwabantu 53 bokka, obusigadde babugoba bwebwatusibwa mu kooti kikerezi.
Mu musango guno Bobi Wine yawabira Museveni, akakiiko kebyokulonda ne gavumenti, ngagamba nti okulonda okwaliwo nga 14 January 2021 kalimu okubba akalulu eranga bingi ebitagoberera mateeka.
Kati abamu ku bajulizi ba Museveni kuliko ba minisita, abebyokwerinda, abalondesa, ababaka ba palamenti nga kuliko neyavuganya kubwa pulezidenti mu lwokaano lwerumu.
Bano bonna bataddeyo obujulizi bwabwe mu buwandiike.
Wabula mungeri yeemu solicitor General Franks Atoke aliko obujulizi bwa Kyagulanyi bwamirundi 10 bweyemulugunyako, ngagamba nti bujungirire.
Kuno kuliko obwa munnamateeka Geoffrey Turyamusima.
Obumu ku bujulizi bwa NRM kuliko obwa ssbawandiisi wekibiina Justine Kasule Lumumba, minisita Esther Mbayo nabalala.
Ate abjulizi ba Bobi Wine kuliko ababaka ba palamenti Francis Zaake, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga, eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Joseph Kabuleta nabalala.
Yye ssabwolereza wa gvumenti mu bajulizi be kuliko Gen David Muhoozi omuddumizi wamagye ge gwanga, Edward Ochom akulira ebikwekweto mu poliisi.
Ate akakiiko kebyokulonda mu bukjulizi bwako mulimu Alex Mulekwa, akolanga ssabawandiisi wakakiiko.