Amawulire

Museveni alagidde amaggye gongerwe okuyiibwa kunsalo okulwanyisa Abayekera

Museveni alagidde amaggye gongerwe okuyiibwa kunsalo okulwanyisa Abayekera

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2023

No comments

Bya Andrew Bagala,

Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni alagidde okuyiwa amagye amalala ku nsalo ya Uganda ne DR Congo oluvannyuma lw’abayekera ba ADF okukola obulumbaganyi kussomero lya siniya mu Disitulikiti y’e Kasese ne batta abayizi 37.

Pulezidenti mu kiwandiiko kyeyafulumiza yategeezezza nti abayeekera ba ADF balumbye essomero lino mu bugenderevu okukyusa ebikwekweto bya UPDF mu buvanjuba bwa DRC n’okubakaka okuggyayo amagye e Congo, ekintu kye batagenda kukola.

Kati ayagala amaggye amalala gayiibwe ku njuyi zombi ez’ensalo naddala mu kiwonvu ky’e Mwalika, abayekera ADF mwebatera okuwumulira.

Kino we kijjidde ng’abagoberera ebyóbufuzi n’abavumirira gavumenti ya NRM babuusabuusa obukulu n’obulungi bw’ekikwekweto kya Operation Shujaa ekyatongozebwa mu 2021.

Mu kikwekweto kino, Uganda yasindika amagye mu buvanjuba bwa DRC okuyigga abayeekera ba ADF, oluvannyuma lw’ekibinja kino okukola obulumbaganyi bwa bbomu mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyewo.

Amaggye 4,000 ge gasindikibwa mu kikwekweto kya Shujaa, kyokka eyali omuduumizi w’amagye Lt Gen Muhanga Mayanja yasooka kulaga nti omuwendo gwetaaga okwongerwako okutuuka ku mitwalo nga 20 okusobozesa entekateeka zabwe okuvaamu ebibala.