Amawulire

Museveni alabudde Lokech

Museveni alabudde Lokech

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze w egwanga Yoweri K. Museveni alabudde ekitongole kya poliisi ku bikolwa ebyenguzi byonna.

Okulabula kuno akukoledde mu lukiiko lwabadde namayuka ssabapoliisi we gwanga Gen Paul Loketch, mu maka gobwa pulezidenti Entebbe.

Museveni era agambye nti bano batekeddwa okukozesa amakubvo amatuufu okukwatanga abateberezebwa okubeera abamenyi bamateeka, nabajjukiza neku nkwata yabantu okuli banaansi nabagwira.

Alavumiridde ebikolwa okukuba abantu, okubasindikiriza nebirala.

Eri abanatu abajagaladde oba abaekalakaasa, agambye nti basaanye era okukozesa amaanyi agekigero okuzza e,mbeera mu nteeko.

Wano era azeemu nalabula nti tajja kukiriza muntu yenna okutisatisa abantu nokubanyagako ebyabwe okuyita mu kukola akavuyo.

Kati gumo mulundi gwakusattu nga Museveni asisinkana abebyokwerinda, mu bbanga etonono.