Amawulire

Museveni alabudde ku busosoze mu mawanga

Museveni alabudde ku busosoze mu mawanga

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

PULEZIDENTI Museveni aweerezza okulabula okw’amaanyi eri Bannayuganda n’abakulembeze ku kusosola mu mawanga.

Ng’akulembeddemu ebikujjuko by’olunaku lwammenunula mu disitulikiti y’e Kakumiro akawungeezi ka leero, pulezidenti agambye nti ekibiina kya NRM kibadde kiwangula akalulu kubanga tekikolagana na byabufuzi ebyawulayawula, obusosoze mu mawanga ne ddiini.

Kati agamba nti bonna abakulembeze abagenda mu maaso nókuleetawo embeera eyóbusosoze mu mawanga bakukangavulwa.

Pulezidenti awadde Bannayuganda amagezi okulonda abantu olw’obusobozi bwabwe so si lwa kika oba eddiini yaabwe.