Amawulire

Museveni alabudde bannauganda kukumala gatambula

Museveni alabudde bannauganda kukumala gatambula

Ivan Ssenabulya

October 9th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze wéggwanga Museveni alabudde bannauganda okukomya okutambulatambula mu mawanga agebweru.

Bino abyogeredde ku mikolo gyamafuga ku kisaawe e kololo agómulundi ogwa 59

Museveni okulabula kuno okukoze oluvanyuma lwa bakozibe 3 beyatambula nabo okugenda ku mwoleso e Dubai ne mu ggwanga lya Ethiopia okuvaayo ne kirwadde kya Covid-19

Ono agamba nti singa bannauganda bakomya okumala gatambula ekirwadde bakukiwona

Emikolo gyámefuga gyetambidwako abagenyi 600 bokka mu kwewala okusasaana kwekirwadde kya covid-19

Wabula okwawukanako ne mikolo egizze gibaawo ku mulundi tewali mukulembeze waggwanga ddala yetabye ku mikolo gino nasindise ba ambasada.