Amawulire
Museveni alabudde ababbi b’ettaka
Bya Benjamin Jumbe, Omuk weggwanga alabudde abakulembeze be wakiso abekobaana nabakungu abakola kunsonga zettaka ne banyaga ettaka lya batuuze
Bino museveni yabyogedde ayogerako eri abatuuze mu lukungaana olwokugyamu mu bwavu mu muluka gwe Bempe mugombolola ye Namuyamba e Wakiso
pulezidenti yalayidde okulwana olutalo lwa kibba ttaka okutuusa nga alulinyeko.
Ono yasabye abakosedwa kunsonga z’ettaka okw’ekolamu ekibiina n’oluvanyuma abasisinkane
Munyegeri yemu pulezidenti yazeemu naatangaza ku bbago ly’etteeka ku mmwanyi nti terigenda kusaba mulimi yenna lisinsi wabula bakwewandiisa basobole okumanyibwa balabe engeri yokuyambibwamu mu kawefube w’okulongoosa omutindo gw’emmwanyi