Amawulire

Museveni akwatibwa ekirwadde kya Covid-19

Museveni akwatibwa ekirwadde kya Covid-19

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omuk. weggwanga Museveni abadde agoberera obutiribiri ebiragiro byonna mu kutangira ekirwadde kya COVID-19 yadde nga nékibiina kye byobulamu ekyensi yonna kya langirira nti ekirwadde kino tekikyali kyantiisa agamba yakebedddwa nazuulibwa nga alina covid.

Bino byasanguziddwa omuwandiisi omukulu mu minisitule eye byobulamu, Dr Diana Atwine, agambye nti pulezidenti yazuuliddwamu ekirwadde kya COVID-19 oluvannyuma lw’okulaga obubonero bwa ssennyiga omukambwe.

Wabula agamba nti pulezidenti tali bubi nga asobola okusigala nga akola emirimu gye wakati mu kweyawula okuva mu bantu.

Bwabadde awa okwogera kwe ku mbeera y’eggwanga eggulo, pulezidenti abikudde ekyama nti ateeberezebwa okuba n’ekirwadde kya COVID-19.

Bino bigenze okubaawo ng’omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti Matthias Mpuuga yalaze obweraliikirivu ku ky’ayita okwonoona ensimbi zómuwi wómusolo nga bakebejja abantu bonna abagenda okubeera ku mukolo okuli Museveni.

Yawaddeyo ekyókulabirako ekya buli muntu eyabadde e Kololo mu kwogera kwa pulezidenti yakebeddwa ekirwadde mu kusooka kyokka nga buli tesiti etwala emitwalo 15 eza Uganda.

Ekyókugamba nti Museveni alina ekirwadde kya Covid-19 kyelalikiriza bannauganda bangi nga beebuuza oba ekirwadde kya ssenyiga omukambwe kyazeemu okubalukawo mu ggwanga ate omuggalo omulala gulume.