Amawulire

Museveni akuziza mutabaniwe Muhoozi  kati afuuse Jenerali omujjuvu

Museveni akuziza mutabaniwe Muhoozi kati afuuse Jenerali omujjuvu

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2022

No comments

Bya B Tabu Butagira

Pulezidenti Yoweri Museveni nga ye Muduumizi w’amagye ow’kuntiko akuzizza mutabani we Muhoozi Kainerugaba okuva ku ddaala lya Lieutenant General n’afuuka General.

General y’asinga eddaala erya waggulu mu nsengeka y’amagye ga Uganda People’s Defence Forces.

Gen Kainerugaba ayise ku mukutu gwe oga twiter nagamba nti enkyukakyuka zino yabadde yawayizaamu ne kitaawe namugamba wakuzilangirira mu bwangu.

Wabula Gen Museveni asudde Mutabani we okuva ku kifo kyómuddumizi wa maggye ga UPDF agókuttaka.

Ono olufunye amawulire gano nagenda ku mukutu gwe ogwa twiter nakyusa ebitiibwa bye natekako nti ye muwabuzi wa pulezidenti ku bikwekweto

Okusinziira ku nsonda eziri mu bifo eby’oku ntikko, Gen Muhoozi azze mu bigere bya Maj Gen Kayanja Muhanga, omuduumizi wa Operation Shujaa mu kiseera kino mu Democratic Republic of Congo.

Muhanga era akuziddwa okuva ku ddaala lya Major General okutuuka ku Lieutenant General.