Amawulire

Museveni akuutidde bannaddiini

Museveni akuutidde bannaddiini

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2019

No comments

Bya Moses Ndhaye

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri K. Museveni akubiriza abakulembeze beddiini okukulemberamu enjiri eyenkulakulana mu Africa.

Museveni agamba nti newankubadde Africa yesinga nnamungi womuntu wabula ate bwegutuuka ku byenkulakulana ekyali mabega ddala olwensonga nti abafirica besibye nyo kunnima eyokuliisa amaka gaabwe ne batafisa gye batunda kufunamu mwana womusiramu bumaali.

Bino pulezidenti abyogeredde ku lutiko e lubaga mu missa ekulembeddemu ebikujuko ebyojujaguza byegiweze emyaka 50 bukya kibiina omwegatira abasumba ku lukalu lwa Africa ekya secam kitandikawo.

Museveni ategezeza nti nga abantu bakyagenda mu maaso nokulima emmere ya leero eggwanga si lyakukulakulana ne ekelezia kuba ensimbi ezibizimba ziva mu bantu.

Abasumba abasoba mu 400 okuva mu nsi yonna bataka mu ggwanga lino okwetaba mu bukujuko ebyokujaguza bwegiweze emyaka 50 bukya begata. mu misa eno.