Amawulire

Museveni akunze abakkiriza okwetanira pulogulamu ya PDM

Museveni akunze abakkiriza okwetanira pulogulamu ya PDM

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze wéggwanga YK Museveni asabye abakkiriza okwaniriza pulogulamu ya parish Devt Model okuyita mu byobulimi basobole okwegobako obwavu.

Bino bibadde mu bubakabwe eri abalamazi abakunganidde ku kiggwa kya bakatoliki e Namugongo mu kujjukira abajjulizi ba Uganda.

Obubaka bwa Museveni busomeddwa ssabaminista Robinah Nabbanja, awabudde nti abatalina ttaka wakulimira betanire enkola ye myooga oba okukola mu makolero oba okwetanira emirimu mu byatechnologia.

Era yebaziza bannauganda okukwatizako gavt mu lutalo olwokulwanyisa ekirwadde kya covid 19 nga bagondera ebiragiro.

Mungeri yemu ssabasumba Paul Ssemogerere asomoozeza abakkiriza okwenyigira ku kubunyisa enjiri ya kristu kuba guno si mulimu gwa basumba bokka.

Omusumba w’essaza ly’e Fort-portal Dr Robert Muhiirwa alabudde ku bikolwa byokweraguza, nti abakulisitu babikomye.

Omusumba Dr Muhiirwa nga yakulembeddemu mmisa ku kiggwa Kyabakatuliki e Namugongo, mu bubaka bwe agambye nti kyannaku wakyaliwo abakirisitu abakyakiririza mu kwelaguza.

Agambye nti tekisoboka kuwereza ssitaani ne Katonda, nga balina okusalawo banyweze okukiriza kwabwe mu Katonda.

Avumiridde nebikolwa by’obwenzi, obutemu, okujjamu embuto nebiralala ebitali byabwakatonda.

Mungeri yemu omusumba Muhiirwa asomozeza abakulembeze be nzikkiriza okudda ku mulamwa ogwokukumakuma endiga za kristu mu kifo kyokumala obudde mu byabwe.

Alaze obwenyamivu okulaba nti abakulembeze mu ddiini ensangi zino tebakyafaayo ku ndiga za katonda wabula okumala obudde mu byabwe kyagambye nti kyabulabe

Fr JB Kaganda okuva ku ggwandisizo lya bakatoliki yavunudde obubaka bwa bishop Muhiirwa