Amawulire

Museveni akungubagidde Gen Tumwine

Museveni akungubagidde Gen Tumwine

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Omuk weggwanga Museveni asabye abakungubazi eri omugenzi gen Elly Tumwine okwewala ekibi wabula bakkiririze mu katonda.

Bino abyogedde wakati mu kusabira omwoyo gwomugenzi Tumwine eyafa mu ssabiiti ewedde mu ggwanga lya kenya mu ddwaliro lya aghakan gyeyali afuna obujanjabi.

Museveni ayogedde ku mugenzi ngomusajja abadde teyelowoozako yekka wabula ayagaliza ensi.

Ate yye Nnamwandu womugenzi Jolly Tumwine, ,ayogedde ku mugenzi ngomusajja abadde atya enyo katonda ate nga ayagaliza abalala ebirungi.

Okusaba bwekuwedde omulambo gwe gusiddwa kunnyonyi ne gutwalibwa mu makaage agasangibbwa mu disitulikiti eye Kazo gyagenda okuziikibwa olunaku lwenkya.