Amawulire

Museveni akungubagidde BMK

Museveni akungubagidde BMK

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni akungubagidde wamu ne famile aboluganda nemikwano gyomugenzi Dr Alhaji Bulaim Muwanga Kibirige abadde amanyiddwa nga BMK.

Museveni ayise ku tweeter, nalaga okunyolwa olwegwaanga okugiirwa omusubuzi abadde omukozi bwati.

Agambye nti yazuula emikisa gyebyenfuna egyifumbekedde mu gwanga, najikozesa okutondsawo emirimu eri abantu naye nayitimuka.

Ayogedde ku nsimbi zabadde assize mu byobuwereza ebyokuweesa, ebyobulimi nebirala, ngamutenederezza olwobukozi nobumalirivu ebimusobozezza okubaako watuuka.

Kati Museveni asabye abavubuka okumuyigirako bakole nnyo, nga baatunuliira obukozi nobumalirivu bwabadde nabwo.

Mungeri yeemu, palamenti ekungubagidde, omugenzi BMK, eyafudde ekirwadde kya prostate cancer ku lunnaku Lwokutaano.

Omugenzi ngabadde musubuzi, yafiridde mu kibuga Nairobi mu gwanga lya Kenya oluvanyuma lw’okulwanagana nekirwadde kino okumala ebbanga.

Amyuka sipiika wa palamenti Anitah Among akawungeezi keggulo yakubagazzi abaoluganda nabemikwano mu maka gomugenzi e Naguru.

Among yategezezza abakungubazi nti okufa kwono, kkonde lyamaanyi eri egwanga nebyobusubuzi bya Uganda.

BMK agenda kugalamizibwa mu nnyumba ye eyoluberera, e Nkoowe mu Wakiso eggulo lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *