Amawulire
Museveni agenda kwogerako eri egwanga
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni agenda kwogerako eri egwanga olwaleero luno.
Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze w egwanga, ku byamawulire Don Wanyama, pulezidenti Museveni, okwogera kwe kuno kwa ssaawa 2 ezakawungeezi, nga kwkausimba amannyo ku nsonga ezenjawulo ezikwata ku gwanga.
Kinajjukirwa nti mu kwogera kwe okwasembaayo mu mwezi gwokubiri, yalagira amasomero gagulewo eri abayizi abali mu bibiina ebidirirra ebisemba.
Okusoma eri abayizi bano kwaddamu nga 1 March, wabula wakati mu bukwakulizo obwamanyi okusobola okutangira ssenyiga omukambwe, COVID-19.
Mungeri Museveni yaggulawo namatendekeri aga waggulu nagebyemikono.