Amawulire

Museveni agenda kwogerako eri eggwanga olunaku lw’enkya

Museveni agenda kwogerako eri eggwanga olunaku lw’enkya

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2022

No comments

Bya Ben Jumbe,

Pulezidenti Museveni agenda kwogerako eri bannauganda mu bubakabwe obufundikira omwaka olunaku lwenkya.

Kino kikakasiddwa munnamawulire wa pulezidenti omukulu Sandor Walusimbi, atubuulidde nti pulezidenti agenda kwogera nga asinzira mu makage agali e Rwakitura.

Wakwogera ku ssaawa bbiri ezekiro era wakulagibwa nokuwulirizibwa ku TV ne radio

Mu kwogera kwe ku nkomerero y’omwaka nga 31. December 2021, pulezidenti yalabula bannayuganda naddala abakadde okubeera obulindaala n’okuba n’obuvunaanyizibwa ku bulamu bwabwe era mweyalangiriira okuggulawo ebyenfuna mu bujjuvu mu gatonya wa 2022