Amawulire

Museveni agenda kusisinkana olukiiko lwa COVID-19 olwaleero

Museveni agenda kusisinkana olukiiko lwa COVID-19 olwaleero

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Olukiiko olwa waggulu olulwanyisa ssenyiga omukambwe, olwa National Covid-19 Task Force olwaleero bagenda kusisinkana omukulembeze wegwanga Yoweri K MuseveNI okubaako byebamunyonyola, ngatekateeka okuggulawo egwanga okuva mu muggalo.

Kigambibwa nti ensisinkano ya leero yegenda okusalawo ebinabeera mu kwogera kw’omukulembeze wegwnaga, ku nkomerereo yomwaka nga 31 Decemba.

Bino webijidde nga waliwo okweyongera mu miwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe, olwakawuka aekika ekippya ekya Omicron, wewaawo nabantu bagenze bongera okujjumbira okugemebwa.

Abakulu mu gavumenti, naddala okuva mu minisitule yebyobulamu bazze bakakasa egwanga nti ebynefuna byonna bigenda kuggulwawo.

Ebibalo biraga nti abalwadde abappya aba buli lunnaku beyongedde okuva ku 32 nga bwegwali nga 2 Decemba okutuuka ku balwadde 1,100 wezatukidde nga 24 Decemba.

Faruk Kirunda, yamyuka omuwandiisi womukulembeze wegwanga kubyamawulire, akaksizza nti okwogera kwomukulembeze wegwanga kujja kuberawo nga 31 Decemba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *