Amawulire

Museveni agamba okulonda kwe Bugiri kwabaddemu obusosoze

Museveni agamba okulonda kwe Bugiri kwabaddemu obusosoze

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Musevei avumiridde obusosoze mu mawanga, bwagamba bweyolekedde mu kulonda kwomubaka wa munisipaali ye Bugiri.

Okulonda kuno kwawanguddwa presidenti wa JEEMA Asuman Basalirwa.

Mu kiwandiiko kyawerezza okuva e South Africa gyeyetabye mu lukungaana lwebyobusubuzi olwa BRICS, Museveni agambye nti okulonda bakutambulizza ku ani muisiraamu, ani Musoga ani atali, ani Budaama nebiralala.

Museveni kati alabudde okukangavvula bonn ababadde emabega wokuseesa amu njawukana zino.

Asabye banna-Uganda obutaddamu kumala gawuliriza bantu ngaabo, kubanga bankigwanyizi abalina byebenonyeza.

Wabula yozayozezza aba NRM olwokuwangula ebiffo 4 ku munsipaali 7, nga neba mayor 5 aba NRM bayiseemu.