Amawulire

Museveni agamba nti abalamuzi ssi bebafuga egwanga

Museveni agamba nti abalamuzi ssi bebafuga egwanga

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni avudeyo nayogera kyababaka okweyongeza emyaka okuva ku 5 okudda ku musanvu kooti kyeyagobaganya.

Kinajukirwa nti abalamuzi bonna omusanvu baagala okyababaka okweyongeza emyaka, nga bagamba nti kimenya mateeka.

Ono okwogera bino abadde mu gwanga lya South Africa  gyali kakano mulukungana lwebyobusubuzi  nagamba nti abalamuzi tebaafudde ku mulamwa gwakino, wabula nebeesiba ku mateeka agataagobererwa

Ono agamba nti emyaka 5 tegimala mubaka kukola mirimogye ,kubanga obuddde bungi babumala bakola ku byakunoonya kalulu.

Ono agamba nti situgaanye abalamuzi baggamba nti tewaali kwebuza kumala, naye ye agamba nti mpaawo muntu ateebhzibwako ku nsonga eno.

Ono agambye nti abalamuzi sibebafuga egwanga, bbo nga abafuga bagenda kutuula babeeko kyebakaanyako.