Amawulire

Museveni addiriza ku Muggalo, entambula eyólukale agigudde

Museveni addiriza ku Muggalo, entambula eyólukale agigudde

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga YK Museveni yaddiriza mu mbeera eyomuggalo bweyakkiriza entambula eyólukale ne yobwannanyini okudamu bwetyabadde alangirira enkyukakyuka empya oluvanyuma lwomuggalo gwe nnaku 42 nga asinzira mu makage, pulezidenti yagambye nti abataxi ne baasi bakkirizibwa okudamu okukola naye nga bakutwala kitundu ku muwendo gwa bantu abalina okuba mu bidduka byabwe nobuteerabira kugoberera biragiro byonna mu kutangira okusasaana kwekirwadde kya covid-19

Bano bakutandika okukola ku lunaku olwe bbalaza.

Kino kidiridde okukendera kwe kirwadde mu ggwanga lyonna okusinzira ku bakwatibwa ekirwadde na bafa.

Ekyokukugira emotoka ezobwannanyini okutasuka nsalo za disitulikiti nakyo kyagibwawo nga kati bakkirizibwa okutambula wonna naye emotoka terina kusuka bantu 3

Naba bodaboda Museveni yabakkiriza okutika omusabaze omu ate bweziwera ssaawa 12 ezekawungeezi badeka.

Mungeri yemu President Museveni akkiriza abasuubuzi bomu kikuubo okugulawo amaduuka gaabwe wabula wakati mu bukwakulizo