Amawulire

Museveni abazungu bamulemeddeko ku tteeka lyé bisiyaga

Museveni abazungu bamulemeddeko ku tteeka lyé bisiyaga

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku,

Bakakensa mu dembe ly’obuntu nga batuula ku kakiiko ky’ekibiina ky’amawanga amagatte basabye Pulezidenti Museveni okwekuba mu kifuba aleme kuteeka mukono ku tteeka ekikangavvula abali b’ebisiyaga eryayisibwa Palamenti gyebuvuddeko nga bagamba nti ebyakoleddwa byonna bityoboola eddmebe ly’obuntu.

Palamenti yayisa ebbago n’ebibonerezo ebikakali eri omuntu asangiddwa nga alya ebisiyaga, asenda senda omulala okubirya, abyogerera n’ekigendererwa eky’okusikiriza abalala okuyingira omuzze guno n’ebilala bingi nga kati Pulezidenti yasigalidde okuliteekako omukono litandike okukola.

Abakugu bano bagamba nti ebibonerezo ng’okuwanika omuntu kalabba bityoboola akawaayiro namba 6 ak’etteeka ly’ensi yonna erya International Covenant on Civil and Political Rights.

Bano mu kiwandiiko kyebafulumizza, balabudde ng’etteeka empya bwerigenda okutumbula okusosola, okutumbula ebikolwa eby’obukyayi, n’okutwalira amateeka mu ngalo.