Amawulire

Munyiikire okusaala Tarawuya

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Ramadahn starts newAbayisiraamu basabiddwa okutwala okusaala Tarawuya ng’ekikulu

Abayisiraamu bangi olumala okusiibulukuka nga kiwedde era bangi nga beebaka

Imam w’omuzikiti gwa kampala mukadde Sheikh Imran Ssali agamba nti tarawuya erimu ebyengera bingi era abantu tebasaanye kugisubwa.

Anyonyodde nti yadde okusaala kuno kutera okubeera mu mizikiti, omuntu yenna asobola okusaalira ewaka

Tarawuya esaalibwa ng’okusaala Isha kuwedde era nga ya laaka 11.