Amawulire

Munyagwa adda leero mu Kkooti

Munyagwa adda leero mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

June 12th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Mubarak Munyangwa eyali omubaka wa Kawempe South mu lukiiko lwe ggwanga olukulu, eyasibibbwa mu kkomera asuubirwa okuddamu okulabikako mu kkooti olwaleero ku misango gy’okuyingirira ekitundu ky’ettaka n’okusaanyaawo ennimiro ya kaawa ebalirirwamu obukadde bwa sillingi butaano mu ngeri ey’obukambwe.

Munyangwa asuubirwa okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’e Kajjansi, Doreen Olga Karungi.

Avunaanibwa wamu ne ssentebe wa LC1 mu Bugu zone Busabala Ward -Masajja; Paddy Kabuye , Ssekitoleko Issa n’abalala; Joweria Nakafeero ne Godfrey Buwembo nga muyizi.

Bano kigambibwa nti baakwatibwa ekitongole kya State House Anti-corruption unit nga June 4th 2023 oluvannyuma lw’okwemulugunya okwakolebwa nnannyini ttaka eriri mu Block 272 plot 256 ; Dechomai Asset Trust e Mutungo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Munyagwa ne banne balwanagana n’emisango 4 okuli; okuyingirira ettaka mu bumenyi bw’amateeka, okwonoona ebintu mu ngeri ey’obukambwe n’okwekobaana okuzza omusango.