Amawulire

Muntu asabye Wangadya yewale eby’obufuzi mu mirimu gy’akakiiko

Muntu asabye Wangadya yewale eby’obufuzi mu mirimu gy’akakiiko

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Alliance for National Transformation-ANT, Rtd Major Gen Mugisha Muntu alabudde ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu Uganda obutabeera na kibiina kya byabufuzi ky’awagira ng’ali ku mulimu gwe.

Kino kiddiridde akulira akakiiko kano, Mariam Wangadya, ng’ayita mu lukung’aana lwa bannamawulire okulumiriza obukulembeze bw’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Unity Platform, nga bwebukozesa kye yayise ebikolwa ebyokuwamba abantu ebitali bituufu okufuna obuwagizi okuva mu bantu.

Ono era alabudde ekibiina obutalumiriza akakiiko nti tekalina kye kakoze ku kuwamba n’okukwatibwa kw’abawagizi b’oludda oluvuganya.

Kyokka Muntu agamba nti Wangadya yandibadde assa essira ku kuweereza Bannayuganda bonna nga tafuddeeyo ku nsonga z’ebyobufuzi bw’aba ayagala okuweereza Bannayuganda obulungi.

Agamba nti ebibiina by’obufuzi tebirina makubo malala ge biyinza kuddukirako kufuna kuyambibwa naddala ku nsonga ezikwata ku gavumenti byebatuusako nga si kakiiko kano, bannamawulire oba kkooti.