Amawulire

Munonyereze ku byaapa

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Schs in kla

Ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza baagala okunonyereza kutandike ku byaapa by’ettaka ly’amasomero wano mu Kampala.

Ababaka bano bali mu kuteesa ku nsonga ezikosa ebyenjigiriza wano mu Kampala nga era bagamba kisaanidde kubanga kikosa n’abayizi buterevu.

Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa  Kalungu y’obugwanjuba bwa Joseph Sewungu asabye KCCA okwanja ebyaapa by’amasomero gonna agali wansi waayo byebalina.

Sewungu era ayagala KCCA enyonyole lwaki amasomero agatali wansi wa  nkola ya bonna basome wa secondary bagavujirira ensimbi .

Bano era batabuse lwaki akulira ekibuga Jeniffer Musisi taliiwo nga bateesa ku nsonga ezikwata ku by’enjigiriza nga ate byamugaso nnyo.

Akakiiko kano kakubirizibwa ssentebe Sarah Lanyero nga era bakyataganjula ensonga ez’enjawulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *